JULIUS Nnyanzi,26, ye nnanyini Pro Bio Research Innovation ku Equatorial mu Room 152. Y’omu ku bavubuka abavuddeyo okweyambisa tekinologiya okukola ebintu ebitambula n’omulembe ate nga bya mutindo ssaako okukuuma obulamu bw’abantu.

Alaga bw’akola emirimu gye:

Julius Nnyanzi nzaalibwa Namungoona nga nasoma okutuuka ku yunivasite e Makerere gye nanoonyeza omulimu ogulimu ebikwatagana ne ssaayansi. Nagenda ne nkolera kkampuni eyaluza obutooke e Buloba kyokka nga sifuna ekyo kye njagala era ne nsalawo okutandika okwekozesa.

Nagenda mu tterekero ly’ebitabo ery’e Makerere ne nsoma ebitabo ebirimu ebyafaayo eby’enjawulo ng’eno gye nasangira akaddo ke bayita Stevia akayamba abalina ssukaali n’endwadde endala.

Bwe nazuula emigaso gya Stevia namunoonya nga wano mu Uganda taliiwo wabula mukwano gwange eyali mu Amerika ye yakanfunira nga yampeereza kakoola kaako okusobola okukatambuliza ku nnyonyi.

Nga nkafunye, nafuna amazzi ga lumonde  omufumbe ne ngattamu amazzi g’ekiddo ky’oku nnyanja ne nsuulamu akakoola era oluvannyuma lw’ennaku akakoola kaaleeta emirandira ne kamera.

Natuukirira jjajja e Masanafu ne mmusaba ku kifo we nnyinza okukalimira n’ampa yiika emu ne ntandika. Nga mpezezza ebikolo 10, natuukirira aba yunivasite ne mbayitiramu era ne bannyamba okunoonya akatale mu bantu ab’enjawulo n’eddwaaliro ly’e Mulago.

Mu kiseera ekyo nga buli kikoola nkitunda ku 5,000/-, abantu bwe bantegeera nalowooza ku ky’okwongera ku mutindo.

Natandika okusekula akaddo kano mu kinu ne nkakungunta ne nfuna ensaano gye napakiranga mu mikebe gye nagulanga ku 500/- ng’ensaano gye nteekamu ngitunda 15,000/- buli gumu era ng’agula mmuweerako endokwa ya bwereere.

Nagenda ngaziwa era ne nasenguka e Masanafu ne nfuna ekifo e Lugogo mu kifo ky’omwoleso kyokka nga ssente nnyingi kuba bansasuzanga doola 1,000 awafunda era eno wankaluubiriza ne nvaayo.

Mukama yannyamba ne nfuna mukwano gwange eyandagirira mu ba Uganda Small Scale Industries Ltd (USSIA) awakungaanira ab’obukolero obutono mu myoleso abansaba 300,000/- okumpa akadirisa. Ku zino nalinawo 150,000/- endala ne nzeewola ku maama eyansaba mutundireko wayini we kye nakola.

Natandika okukola nga nyinyonnyola abantu era mu nnaku ssatu nnali nkoze 800,000/- nga nfunye amagoba ga 500,000/-.  Wabula ku lunaku olwasembayo waliwo Omuzungu eyayagala ebintu byange n’ampita ngendeko mu butale bwabwe kuba akaddo ako baali bakategeera bulungi.

Bwe nagendayo ebintu byakyuka ne ngula emikebe emirala okwongera ku bungi ne nkyusa n’okuva ku kusekula mu kinu ne ngula akuuma.

Naddamu okunoonyereza ku kaddo kano ne nzuula engeri y’okukolamu obuloosa n’okuva mu bintu byaffe ebya wano ebirala.

Buno nabwo Abazungu baabwagala era bwe batyo ne bansaba ng’endeko mu mawanga ag’enjawulo nabo balabe ku bintu byange.

Ku lugendo lwange olwasooka okugenda ebweru mbeera ndi ku nnyonyi obuwoowo ne bungiikako, mu kifo ky’abantu okuyomba ate baatandika kubungulako era nakolerako doola 1,000/-.

Bwe nadda ssente ze nafuna e South Afrika nazipangisaako edduuka ku Equatoria Mall era nakati we nkolera. Njiiyizza ebintu ebirala bingi omuli: amajaani okuva mu kalittunsi agawonya entunnunsi n’ebirwadde ebirala.

Olwa bizinensi okugaziwa, nafuna abalimi abannyambako okulima ebintu ebyetaagisa nga Stevia, kalittunsi n’emiddo emirala omuli ne Hobart Saudah okuva mu bitundu nga Nakasongola, Kigo, Fort Portal, Luweero, Masindi, Rwanda, Kenya ne Botswana.

EMIGASO GY’AKADDO KA STEVIA

  1. Kkiro ya ssukaali wa Stevia owoobutonde, yenkana ne kkiro ttaano eza ssukaali ow’ebikajjo.
  2. Obukoola bwa Stevia osobola okubuteeka ku caayi ng’amajaani oba okumukolamu ensaano n’akola nga ssukaali, wabula mu kikopo oteekamu katundu ka kagiiko kuba bw’ayitirira awoomerera nnyo kuba obuwoomerevu bwa Stevia bukubisa mu ssukaali owaabulijjo emirundi 300.
  3. Ayamba mu kutereeza obungi bwa ssukaali mu mubiri.
  4. Ssukaali w’obutonde akola kinene mu kulongoosa omusaayi ekikendeeza emikisa gy’oyo amukozesa okulwala puleesa.
  5. Ssukaali w’obutonde ayamba okukendeeza omukka mu lubuto ekitangira alusa.
  6. Stevia ayamba okusala omugejjo ssinga omunywera ebbanga.
  7. Olwa Vitamiini n’eminnyo ebiri mu Stevia, biyamba okugonza olubuto omuntu n’afuluma bulungi.
  8. Stevia era ayamba mu kujjanjaba amannyo.
  9. Ayamba okulongoosa olususu ssinga amazzi gaako gagattibwa mu bizigo era kano kettanirwa mu mawanga ga Buwalabu era kalawanyisa ekirwadde kya ekizema {Eczema}.
  10. Stevia aziyiza ebirwadde bya kookolo naddala ow’omu lubuto.

Stevia asobola okukolebwa mu ngeri ez’enjawulo omuli: ensaano, amakerenda, amazzi oba ebikoola.

Tukubire ku Number zaffe; Prof Bio Research -0779519652/0702061652

Edduuka lyaffe liri ku Equatorial Mall Bombo Road,Level 2, shop 152

Email: This email address is being protected from spambots. You need JavaScript enabled to view it.